Luke 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'akyukira ekibiina ekyali kimugoberera, n'abagamba nti: “Ka mbabuulire, newandibadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kwenkana wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti, “ Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yawulira ebyo, n'amwewuunya. N'akyukira ekibiina ky'abantu ekyali kimugoberera, n'agamba nti: “Mbagamba nti sisanganga alina kukkiriza nga kuno, wadde mu Bayisirayeli!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.