Luke 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo oluvannyumako n'ayitaayita mu bibuga n'ebyalo ng'ayigiriza, era ng'ababuulira amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda; n'Ekkumi n'Ababiri nga bali naye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’agenda ng’akyalira ebibuga ebinene n’ebitono ng’abuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda, n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri nga bali naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyumako katono Yesu n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira ng'atenda Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, abayigirizwa be ekkumi n'ababiri (12) nga bali naye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyumako, Yesu n'atambula olugendo ng'ayita mu bibuga ne mu byalo, ng'ategeeza abantu era ng'abunyisa Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda. Abayigirizwa ekkumi n'ababiri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyumako katono n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, bali ekkumi n'ababiri nga bali naye,