Luke 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka bwa Katonda; abalala bo kibabuulirwa mu ngero, bwe balaba baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama by’obwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero, “ ‘bwe batunula baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “ Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'addamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, naye abantu abalala babibuulirwa mu ngero, balyoke balabe naye nga tebeetegereza, bawulirize naye nga tebategeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera.