Luke 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensigo ey'oku kkubo, be baabo abawulira, oluvannyuma Sitaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu myoyo gyabwe, baleme kukkiriza na kulokoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani n’ajja n’akibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira ekigambo; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensigo ezaagwa mu kkubo, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye Sitaani n'ajja n'akiggya mu mitima gyabwe, baleme okukkiriza ne balokolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa.