Luke 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate eyagwa ku lwazi, be baabo, bwe bawulira ekigambo, bakyaniriza n'essanyu; naye obutabaako mirandira, bakkiriza akabanga, ate mu budde obw'okukemebwa, nga beeseebulula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mmizi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo ku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mmizi, bakikkirizaako kaseera katono, naye mu biro eby'okukemebwa ne baterebuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ate ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu, naye ne baba ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka. Bakkiriza okumala ekiseera kitono, mu kiseera eky'okukemebwa ne baterebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ab'oku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mizzi, bakikkirizaako kaseera, era mu biro eby'okukemebwa baterebuka.