Luke 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyagwa mu maggwa, be baabo abawulira; naye bwe bagenda, okweraliikirira n'obugagga, n'amasanyu ag'obulamu ne bibatuga ne batabala bibala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira n’obugagga n’amasanyu g’omu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira ekigambo, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza ku kuza mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ezo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye emitawaana, n'obugagga n'amasanyu eby'omu bulamu buno, ne bigenda nga bibamalamu amaanyi, ne batakola bikolwa birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza kukuza mmere.