Luke 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyagwa ey'omu ttaka eddungi, be baabo abawulira ekigambo ne bakitereka mu mutima omulungi, omwesimbu, ne baleeta ebibala mu kugumiikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala n’obugumiikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala ebibala n'okugumiikiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda n'omutima omulungi ddala, ne bakikuuma era ne bakola ebikolwa ebirungi nga bagumiikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala emmere n'okugumiikiza.