Luke 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tewali akoleeza ttawaaza n'agisaanikirako nsuwa, oba n'agissa wansi wa kitanda; naye agiwanika ku kikondo abayingira balyoke balabe ekitangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba n’agissa wansi w’ekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lw’esobola okumulisiza abantu abayingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era tewali muntu akoleeza ttaala n'agisaanikira mu kibbo, oba okugissa wansi w'ekitanda; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu takoleeza ttaala n'agibikkako ekibbo, oba n'agiteeka wansi wa kitanda, wabula agiteeka ku kikondo kyayo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tewali akoleeza ttabaaza n'agisaanikira mu kibbo, oba kugissa wansi w'ekiriri; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka.