Luke 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali; ne batasobola kumutuukako olw'ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nnyina ne baganda ba Yesu ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olw’ekibiina ky’abantu ekinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnyina wa Yesu ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy'ali, kyokka ne batasobola kumutuukako olw'obungi bw'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina.