Luke 8:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali bawunguka, ne yeebaka. Omuyaga ogw'empewo ne gukka ku nnyanja, ne bajjula amazzi, ne baba mu kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’eryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula mu lyato, ne baba mu kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali mu lyato nga bagenda, Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, eryato ne liba kumpi okujjula amazzi, bonna ne baba mu kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula, ne baba mu kabi.