Luke 8:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basembera w'ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tusaanawo!” Ye n'agolokoka, omuyaga n'ennyanja eyali esiikuuse n'abikomako, ne bikoma, ne guba mulaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, “ Mukama waffe, Mukama waffe, tufa.” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, ennyanja neteeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ne basembera awali Yesu ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tufa!” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'amayengo g'ennyanja. Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti Mukama waffe, Mukama waffe, tufa. N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, n'eba nteefu.