Luke 8:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Okukkiriza kwammwe kuli wa?” Ne batya, ne beewuunya, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, alagira empewo n'amazzi ne bimuwulira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?” Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga n’amazzi ne bimugondera!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Okukkiriza kwammwe kuli luuyi wa?” Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti, “ Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira? ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki temulina kukkiriza?” Bo nga batidde, era nga beewuunya, ne bagambagana nti: “Kale ono ye ani? Olaba n'omuyaga era n'amayengo abiragira ne bimuwulira!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Okukkiriza kwamme kuli luuyi wa? Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira?