Luke 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yagoba ku ttale, n'ajjirwa omuntu okuva mu kibuga eyalimu emyoyo emibi. Ebiro bingi yali takyayambala, nga tasula na mu nnyumba, wabula ng'abeera eyo mu biggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni n’ajja okumusisinkana ng’ava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ng’asula mu ntaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yava mu lyato n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni. Omusajja oyo yali amaze ennaku nnyingi nga tayambala lugoye, era nga ne mu nnyumba tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali nga ky'ajje atuuke ku lukalu, omusajja eyava mu kibuga, era aliko emyoyo emibi, n'amusisinkana. Omusajja oyo yali amaze ekiseera kiwanvu nga tayambala, era nga taba mu nnyumba, wabula mu mpuku eziziikibwamu abafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yavaamu n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni, nga yaakamala ennaku nnyingi nga tayambala lugoye ne mu nnyumba nga tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana.