Luke 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwalengera ku Yezu, n'awowoggana, n'ajja agwa mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Onjagaza ki ggwe Yezu Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ddala? Nkwegayiridde tombonyaabonya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yalaba Yesu n’awowoggana n’agwa wansi mu maaso ga Yesu, n’aleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “ Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yalaba Yesu, n'awowoggana nnyo, n'afukamira mu maaso ge, era n'aleekaana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza.