Luke 8:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yali alagidde omwoyo omugwagwa guve mu musajja. Anti ebbanga lyali ddene bukya gumukwata; baamukuumiranga mu masamba ne mu njegere, naye ebyamusibanga ng'abikutula, omwoyo omubi ne gumutwala mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga n’amaanyi mangi, ne bwe baamusibanga n’enjegere, n’akuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni n’amulaza mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Yesu yali alagidde dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga yali amaze ebbanga ddene nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagamba bw'atyo kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo. Emirundi mingi gwamukwatanga, ne bamukuuma nga musibe n'enjegere, kyokka n'azikutulanga, ne gumutwala mu malungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yalagira dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga Yali Yaakamala ebiro bingi nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu.