Luke 8:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” n'amugamba nti: “Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali gimuyingiddemu mingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” Omusajja n’addamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'agamba nti, “ Liigyoni;” Kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Nze Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali mingi ku muntu oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'agamba nti Liigyoni; kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu.