Luke 8:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo emyoyo emibi ne giva mu muntu, ne giyingira mu mbizzi; eggana lyonna ne lifubutuka, ne lyesolessa mu nnyanja okuva waggulu ku bbanga, ne lisaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi; eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku lusozi, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutukira mu bbanga ne zigwa mu nnyanja ne zifa amazzi.