Luke 8:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bavaayo okulaba ekibaddewo; ne bajja eri Yezu, ne basanga omuntu emyoyo emibi gwe gyavaamu ng'atudde ku bigere bya Yezu, ayambadde era ng'ategeera bulungi; ne batya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ky’abantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ng’atudde awo awali ebigere bya Yesu ng’ayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo. Ne batuuka awali Yesu, ne basanga omuntu ng'emyoyo emibi gimuvuddeko. Baamusanga atudde kumpi n'ebigere bya Yesu, era ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya: