Luke 8:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna eky'ab'omu nsi ey'Abagerasa ekyetooloddewo ne kimwegayirira abaviire; kubanga entiisa yali ebakutte nnene. Awo kwe kusaabala mu lyato n'addayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna ab’ensi eyo ey’Abagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. N’asaabala mu lyato n’avaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gyebali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo abantu bonna ab'omu nsi y'Abagerasa ne basaba Yesu ave ewaabwe, kubanga baali batidde nnyo. Awo Yesu n'asaabala mu lyato, agende.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gye bali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo.