Luke 8:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Genda ewammwe, obuulire Katonda by'akukoledde.” N'agenda n'ayitaayita mu kibuga kyonna ng'alangirira obunene bw'ebyo Yezu bye yali amukoledde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda by’akukoledde.” Omusajja n’agenda ng’ategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu.” N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddayo ewammwe, onyumize abantu byonna Mukama by'akukoledde.” Awo omuntu oyo n'atambula ekibuga kyonna ng'ategeeza abantu byonna ebyamukolerwa Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu. N'agenda ng'abuulira ekibuga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera.