Luke 8:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulu wa sinaagooga; n'agwa ku bigere bya Yezu, n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro, n’agwa ku bigere bya Yesu n’amwegayirira ajje mu maka ge,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu n'amwegayirira ayingire mu nnyumba ye:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja ayitibwa Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'amwegayirira agende ayingire mu nnyumba ye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'agwa awali ebigere bya Yesu n'amwegayirira okuyingira mu nnyumba ye: