Luke 8:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yali alina omwana we ow'obuwala omu yekka nga wa myaka kkumi n'ebiri, yali afa. N'agenda, naye ekibiina nga kimusindiikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga muwala we omu yekka gwe yalina, eyali aweza emyaka nga kkumi n’ebiri yali afa. Yesu n’agenda naye, naye ng’ekibiina kimunyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga wa myaka ekkumi n'ebiri (12), oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga muwala we ow'emyaka ekkumi n'ebiri, ate nga ye mwana gwe yalina yekka, yali kumpi okufa. Yesu bwe yali ng'agenda, ebibiina by'abantu ne bimunyigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, era oyo yali ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza.