Luke 8:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omukazi eyali alwadde endwadde eya ggerenge okumala emyaka kkumi n'ebiri ne watabaawo amuwonya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibiina ky’abantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri ng’alwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ng’abasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), ng'awadde abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, era ng'awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo, kyokka nga tewali asobola kumuwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, eyawanga abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna,