Luke 8:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'afuluma emabega, n'akoma ku matanvuuwa g'ekyambalo kye, amangu ago okukulukuta kw'omusaayi ne kukoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi ono n’asemberera Yesu ng’amuvaako emabega, n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu, ekikulukuto ky’omusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangwago ekikulukuto kye ne kikalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi gwe ne kikalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo n'amufuluma emabega n'akoma ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangu ago ekikulukuto kye ne kikalira.