Luke 8:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'agamba nti: “Ani oyo ankomyeko?” Bonna ne beegaana. Awo Petero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bakwetoolodde, bakusindiikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero n’agamba nti, “Mukama waffe, ekibiina ky’abantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abuuza nti, “ Ani ankomyeko?” Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti, “ Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza.” Era ogamba nti, “Ani ankomyeko?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abuuza nti: “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana. Peetero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bangi abakwekuusaako, era abakunyigiriza!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'agamba nti Ani ankomyeko? Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza.