Luke 8:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi bwe yalaba nga tasobola kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'avunnama ku bigere bye n'ayatula mu maaso g'abantu bonna ensonga eyamumukomezzaako, era nga bw'awonye amangu ago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi bwe yategeera ng’avumbuddwa, n’ajja ng’akankana n’agwa awo mu maaso ga Yesu, n’annyonnyola mu maaso g’abantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti n’obulwadde bwe bwawoneddewo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'afukamira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, era ne bw'awonye amangwago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi bwe yalaba nga tasobodde kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'afukamira awali Yesu, n'amutegeeza ng'abantu bonna bawulira, ensonga kye yavudde amukwatako, era nga bwe yawonye amangwago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'amufukaamirira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, ne bw'awonye amangu ago.