Luke 8:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyayogera, ne wabaawo ajja okuva ew'omukulu wa sinaagooga ng'agamba nti: “Muwala wo afudde; omuyigiriza toyongera kumuteganya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'agamba omukulu oyo nti, “Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali akyayogera, omubaka eyava mu maka g'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja, n'ategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde. Leka kuteganya Muyigiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro ng'agamba nti Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza.