Luke 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omusizi yafuluma okusiga ensigo ye. Yali asiga, ensigo emu n'egwa mu kkubo, n'erinnyirirwa ebigere, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bigirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omulimi yagenda mu nnimiro ye okusiga ensigo. Bwe yatandika okusiga ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ne bazirinnyirira, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bizirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'omu bbanga ne zizirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusizi yagenda okusiga ensigo. Bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa mu kkubo, ne zirinnyirirwa, era ebinyonyi ne bizirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'o mu bbanga ne zizirya.