Luke 8:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawulira ekigambo ekyo, n'amugamba nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, ajja kuwona.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti, “ Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, muwala wo ajja kulamuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.