Luke 8:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna baali awo nga bakaaba, nga bamukubira ebiwoobe; naye ye n'agamba nti: “Muleke kukaaba; kubanga tafudde, yeebase bwebasi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; Yesu n'abagamba nti, “ Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna abaaliwo, baali bakaaba era nga bakuba ebiwoobe olw'omwana oyo. Kyokka Yesu n'agamba nti: “Temukaaba, kubanga tafudde, wabula yeebase.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; ye n'agamba nti Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo.