Luke 8:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'akwata omukono gw'omuwala n'ayogerera waggulu, n'agamba nti: “Muwala, golokoka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, “Mwana wange, golokoka!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “ Omuwala, golokoka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyita nti: “Omwana, golokoka!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Omuwala, golokoka.