Luke 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endala n'egwa ku lwazi; n'emeruka, n'ekala, kubanga teyalina mazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensigo endala zaagwa ku lwazi, bwe zaamera ne zikala kubanga tezaalina mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera, olw'obutaba na mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensigo endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi. Bwe zaamera, ne zikala, kubanga ettaka teryalimu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera; olw'obutaba na mazzi.