Luke 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayita Ekkumi n'Ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza ku myoyo emibi gyonna era n'okuwonya endwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri wamu n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba badayimooni bonna n'okuwonya endwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abawa amaanyi n'obuyinza okugoba emyoyo emibi gyonna ku bantu n'okuwonya endwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abayitira wamu abayigirizwa be ekkumi n'ababiri n'abawa amaanyi n'obuyinza ku badayimooni bonna n'okuwonya endwadde.