Luke 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abatume ne badda, ne bamunyumiza byonna bye baakola. Ye n'abatwala, n'ava awo nagenda ebbaliko yekka mu kibuga ekiyitibwa Betisayida.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu n’abatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abatume bwe baamala okukomawo, ne bamunnyonnyola byonna bye baakola. N'abatwala ne yeeyawula n'agenda nabo kyama mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatume ne bakomawo, ne bategeeza Yesu byonna bye baakola. N'abatwala, ne bagenda naye bokka mu kibuga ekiyitibwa Betusayida.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abatume bwe baamala okukomawo, ne bamunnyonnyola byonna bye baakola. N'abatwala ne yeeyawula n'agenda nabo kyama mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.