Luke 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abantu bwe baamanya, ne bamugoberera; n'abasanyukira, era n'ababuulira ku bwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu n’abaaniriza, n’abayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, n’abaali abalwadde n’abawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebibiina bwe baategeera ne bamugoberera; n'abaaniriza, n'ayogera nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi nnyo bwe baakimanya, ne bamugoberera. Bwe yamala okubaaniriza, n'ababuulira ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, era n'awonya abaali beetaaga okuwonyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebibiina bwe baategeera ne bamugoberera; n'abaaniriza, n'ayogera nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'abaali beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya.