Luke 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwagenda buziba, Ekkumi n'Ababiri ne bamusemberera ne bagamba nti: “Abantu basiibule, bagende mu bibuga ne mu byalo ebyetoolodde basule eyo, bafune ne kye banaalya, kubanga wano we tuli kifo kyesudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri (12) ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi bafune aw'okusula, banoonye n'eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwali butandika okuwungeera, abayigirizwa ekkumi n'ababiri ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Abantu basiibule bagende mu bubuga ne mu byalo ebiriraanye wano, bafune emmere ne we banaasula, kubanga wano tuli mu kifo kya ddungu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enjuba yali egolooba; abo ekkumi n'ababiri ne bajja w'ali ne bamugamba nti Siibula ekibiina bagende mu mbuga ne mu byalo eby'okumpi basule, banoonye eby'okulya; kubanga wano tuli mu ttale jjereere.