Luke 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mmwe mubawe kye banaalya.” Bo ne bamugamba nti: “Tetulina kirala, okuggyako emigaati etaano gyokka n'ebyennyanja bibiri; mpozzi tugende tugulire abantu bano bonna emmere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Mmwe mubawe eby'okulya.” Ne bagamba nti, “Tetulina kintu wabula emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, okuggyako tugende tubagulire eby'okulya abantu bano bonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'abagamba nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Ne baddamu nti: “Tulinawo emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri. Mpozzi okuggyako nga tugenda ne tugulira abantu bano bonna emmere!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mmwe mubawe eby'okulya. Ne bagamba nti Tetulina kintu wabula emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri; kyokka tugende tubagulire eby'okulya abantu bano bonna.