Luke 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze ebibinja nga by'amakumi ataano kinna kimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baali abasajja ng'enkumi ttaano (5,000). N'agamba abayigirizwa be nti, “Mubatuuze nnyiriri ng'ataano ataano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja baali bawera ng'enkumi ttaano. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mubatuuze mu bibinja nga buli kimu kirimu ng'amakumi ataano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baali abasajja ng'enkumi ttaano. N'agamba abayigirizwa be nti Mubatuuze nnyiriri ng'ataano ataano.