Luke 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'abikwasa abayigirizwa be babigabire abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addira emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso mu ggulu, n'abyebaza n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubissa mu maaso g'ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso ge eri eggulu, ne yeebaza Katonda, n'abimenyaamenyamu, n'abiwa abayigirizwa be babigabire abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso mu ggulu, n'abyebaza n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubissa mu maaso g'ekibiina.