Luke 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebyalema, ebisero kkumi na bibiri eby'obutundutundu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balya ne bakkuta bonna; ne bakuŋŋaanya obukunkumuka ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne balya ne bakkuta. Obutundutundu obwalemerawo, ne bukuŋŋaanyizibwa, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balya ne bakkuta bonna; ne bulondebwa obukunkumuka bwe baalemwa, ebibbo kkumi na bibiri.