Luke 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, yali ali yekka nga yeegayirira, n'abayigirizwa be nga bali naye, n'ababuuza nti: “Abantu bagamba nze ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'asaba yekka, nga abayigirizwa be baali wamu naye. N'ababuuza ng'agamba nti, “Ebibiina bimpita ani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Yesu yali asinza Katonda, nga n'abayigirizwa be weebali, n'ababuuza nti: “Abantu bwe baba banjogerako bampita ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yali ng'asaba yekka, abayigirizwa be baali naye wamu. N'ababuuza ng'agamba nti Ebibiina bimpita ani?