Luke 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bayanukula ne bagamba nti: “Yowanna Batista, naye abalala nti Eliya, n'abandi nti omulanzi omu ku b'edda azuukidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu ne bagamba nti, “Yokaana Omubatiza; naye abalala nti Eriya; n'abalala nti Ku bannabbi ab'edda omu ku abo azuukidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza, abalala Eliya, n'abalala bagamba nti omu ku balanzi ab'edda azuukidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu ne bagamba nti Yokaana Omubatiza; naye abalala nti Eriya; n'abalala nti Ku bannabbi ab'edda omu ku abo azuukidde.