Luke 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu yalina okubonyaabonyezebwa ebingi n'okwegaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi n'okuttibwa, n'okuzuukizibwa ku lunaku olwokusatu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'agamba nti, “ Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ennyo, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'agamba nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, era ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.