Luke 9:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bonna n'abagamba nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe buli lukya, angoberere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba bonna nti, “ Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'agamba bonna nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe buli lunaku, n'angoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba bonna nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga omusalaba gwe buli lunaku, angoberere.