Luke 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale omuntu kimugasa ki okulya ensi yonna, sso ye n'azaawa oba n'afiirwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna, naye nga ye yeebuzizza oba nga yeetunze?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate ne yeezikiriza, oba ne yeeretera okufiirwa obulamu bwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonna nga yeebuzizza oba nga yeetunze?