Luke 9:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, oyo Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijja mu kitiibwa kye n'ekya Taata n'ekya bamalayika abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, bw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli muntu akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne mu kitiibwa kya Kitaawe, ne mu kya bamalayika abatukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi, lw'alijjira mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.