Luke 9:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'ebigambo bino nga wayise ennaku nga munaana, n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna, n'alinnya nabo ku lusozi okwegayirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebigambo ebyo nga wayiseewo ennaku munaana, Yesu n'atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ennaku nga munaana nga Yesu amaze okwogera ebyo, n'atwala Peetero ne Yowanne ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusinza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebigambo ebyo nga wayiseewo ennaku munaana, n'atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo, n'alinnya ku lusozi okusaba.