Luke 9:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali yeegayirira, enfaanana y'amaaso ge n'efuuka, ebyambalo bye ne byeruka, ne bimasamasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ng'asaba, ekifaananyi ky'amaaso ge ne kiba kirala, n'ekyambalo kye ne kiba kyeru nga kimasamasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'akyasinza, endabika y'amaaso ge n'efuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne byakaayakana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali ng'asaba, ekifaananyi ky'amaaso ge ne kiba kirala, n'ekyambalo kye ne kiba kyeru nga kimasamasa.