Luke 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Temutwalanga kantu mu lugendo, newandibadde omuggo, newandibadde ensawo, newandibadde omugaati, newandibadde ffeeza, era temubeeranga na kkanzu bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Temutwala kintu kya kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mu lugendo luno, temugenda na kantu konna, newaakubadde omuggo, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, newaakubadde emmere, wadde ensimbi, era temuba na kkanzu yaakubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Temutwala kintu kya mu kkubo, newakubadde omuggo, newakubadde olukoba, newakubadde emmere, newakubadde effeeza; so temuba na kkanzu bbiri.