Luke 9:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'abaali naye otulo twali tubali bubi, naye baasigala batunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abasajja bali ababiri abaali bayimiridde naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero ne be yali nabo baali bakwatiddwa otulo: naye bwe baatunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayimiridde w'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero ne banne be yali nabo, baali bakwatiddwa otulo, kyokka bwe baazuukuka, ne balaba ekitiibwa kya Yesu, n'abasajja ababiri abaali bayimiridde naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Peetero ne be yali nabo baali bakwatiddwa otulo: naye bwe baatunula, ne balaba ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayimiridde w'ali.